Abaserikale ba poliisi nga basitudde omulambo gwa munnaabwe ate mu katone ye Esther Akol eyattiddwa
OMUSERIKALE wa poliisi yasoose kukebera ssimu ya mukazi we n’asangamu obubaka obwaweerezeddwa omusiguze nga buwaana omukyala.
Yavudde mu mbeera era obusungu obw’ettumbiizi bwamuleetedde kimu kya kukuba mukazi we masasi, oluvannyuma naye yette! Kino kye yakoledde ddala.
PC Godfrey Sabiiti 37, yakedde ku sitoowa etereka emmundu mu nkambi y’abapoliisi e Nsambya era n’awandiika mu kitabo kya poliisi ng’alaga nti agenda ku mulimu, olwo ne bamukwasa emmundu ya gavumenti.
Olwakutte emmundu, yakyuse bukyusi n’addayo mu nnyumba mw’abadde asula ne mukaziwe Esther Caroline Akol 27. Ng’atuuse, yasanze mukazi we alongoosa nnyumba era yakubiddewo essasi eryasoose, olwo omukazi n’akyuka okulaba ogubadde. Sabiiti ng’aswakidde ng’ensolo enkambwe, yakubye mukazi we essasi limu mu kifuba era omukazi n’aga eri n’afa.
Bamulekwa ba Sabiiti ne Akol be baleseewo.
Olwamaze okukakasa nti afudde, Sabiiti yaddidde emmundu y’emu AK47 n’agisonga ku kifuba kye mu kifo kyennyini awali omutima, n’akwata ku mmanduse ne yeekuba essasi limu era naye ne limuttirawo.
Omulambo gw’omukazi gwasangiddwa ku mulyango ate ogwa Sabiiti gwabadde mu ddiiro ng’ebbali waagwo we wali emmundu eyakozeseddwa mu butemu buno.
Omusaayi ogwakulukuse nga guva mu mirambo ebiri gwabadde gukoze ekitaba, era obwedda buli alingizaayo ng’avaayo azikubamu makiikakiika.
OWAPOLIISI YASOOSE KUKOLA KIRAAMO Kabira Okot muliraanwa wa Sabiiti yagambye nti baawulidde amasasi nga gavuga gava ku ludda awali ennyumba Sabiitine mukazi we mwe babadde basula era okutuukawo, nga bombi (omwami n’omukyala) bamaze okufa.
Baasanze abaana abasatu abaabadde mu nnyumba nga bakaaba bwe banyeenya emirambo gya bazadde baabwe nga bwe babayita “Mmami”, “Ddadi”, wabula nga teri ayanukula; baafudde dda! Mu kwekebejja ebyabadde mu nnyumba, poliisi yazudde ekiraamo Sabiiti kye yalese atadde mu buwandiike.
Yalaze nti alina abaana 3: Danel Odeke 7, Rose Kachiri ne Blessing Kayeri. Sabiiti ne mukazi we babadde bayingidde emyaka munaana mu bufumbo.
Yagasseeko nti: Sirina bingi bye ndese mu nsi, okuggyako poloti gye nnagula era taata amanyi bulungi awali poloti n’ebipimo byayo. Abaana bange abasatu bagigabane oba etundibwe era ssente bazigabane kyenkanyi.
Yataddemu ne akawunti gye yayogeddeko nti teriiko ssente wabula asuubira ez’omwezi guno nazo n’alagira ziggyibweyo ziyambe abaana. Ssente endala azisuubira mu SACCO ya Poliisi, n’ez’akasiimo k’asuubira olw’emyaka kkumi gy’aweerezza mu poliisi era zonna n’alagira ziyambe abaana.
Baliraanwa abalala baategeezezza nti omusajja abadde yeewerera omukazi ng’amulumiriza obwenzi. Sabiiti yali yagabwa e Mbarara era abadde ky’aggye akomezebwewo mu Kampala ng’assiddwa mu kitongole ekikuuma abakungu (VIPPU).
Sabiiti bwe yakomyewo mu Kampala yatandikiddewo okulondoola omukazi n’okwekebejja ebintu by’omukyala okukakasa oba olugambo bulijjo lw’awulira nti Caroline yafunayo omusajja omulala lutuufu.
Obubaka bwa SMS (Mesegi) bwe yasanze mu ssimu y’omukyala ng’omusiguze awaana omukyala bw’ali omuka, Sabiiti kwe yeesigamye okutta mukazi we!
Baliraanwa baagambye nti Sabiiti abadde musirise nnyo kyokka ng’alina ebbuba eritagambika nti era bwe baamusindika e Mbarara, yasooka kugaana ng’agamba tayinza kuleka mukazi we, basajja balala kumutawaanya.
Ekiseera ekyo, baalowooza ku ky’okugenda bombi e Mbarara kyokka ne kikaluba kubanga kyali kigenda kutaataaganya abaana baabwe ababiri abaasangibwa nga bali mu ssomero ly’e Nsambya.
Oluvannyuma emirambo gyatwaliddwa e Mulago mu ggwanika. Sabiiti yayingira poliisi mu 2007 era abantu bangi obutemu buno bwabakubye wala kubanga babadde bamumanyi ng’omusajja atakoma ku kukwasisa mateeka n’ebiragiro, wabula abadde musaale mu kugoberera amateeka n’okukuuma eddembe.
Abamu baategeezezza nti yasoose kwekebeza siriimu n’azuula ng’alina akawuka ka n’ateebereza nti omukazi y’eyakamusiiga. Aduumira Poliisi y’e Kabalagala, Bernard Mugerwa yagambye nti balinze abooluganda lw’abagenzi ku njuyi zombi, okukolera awamu nabo mu enteekateeka z’okuziika.
Yagasseeko nti ne fayiro ku butemu buno yagguddwaawo, nti kyokka bye baakazuula biraga nti Sabiiti amaze akaseera nga yeetegeka okukola obutemu buno.
Omugagga wano e Buganda agobye Omukyala n’abaana be 9 mumaka gaabwe:
By John Bosco Mulyowa
Added 1st October 2016