Wano e Buganda, Bajjajja abatawaana n'abazzukulu abatalina mwasirizi balaajanidde Gav't: 'Naffe mutuwe ku za Nabbanja':
 
10 July, 2021
 
Ssennabulya Baagalayina
Journalist @Bukedde
Hanifah Nanfuka 90 (1)
 

ABAKYALA abakadde nga bafiirwako abaana baabwe ne babalekera abazukkulu balaajanidde Gavumenti n'abazirakisa okubadduukirirayo n'ekyokulya baleme okutondoka enjala nga ne COVID 19 tannabatta.

Bano bawang'alira mu kabuga 'e Mukoko mu ggombolola y'e Bukululamu Kalungu ng'obuyinike babusindidde aboobukiiko bwabwe era abakulira n'akakiiko akalwanyisa ekirwadde kya COVID 19 mu kitundu.

Sheikh Hasim Mugera n'abakakiiko ke bategeezezza nti ebyalo byabwe okuli Mukoko North  ne Mukoko South balinamu abakadde abatalina mwasirizi ng'ekyokula kibekubya mpi so n'abamu basula mu nju mpangise.

 

Madalena Nanziri 72

 

Abamu ku bakadde bano kuliko Aisha Nakazibwe 64, Stella Namayanja 62, Maria Nattabi 72, Doroth Nakayenga, Hanifah Nnanfuka 90 ne muwala we Madalena Nanziri 72 n'abalala.

Mu kulambula abakadde bano, abakadde balaajanye nti basiiba ne basula ng'obumere obubaweereddwa babuwadde abazukkulu kyokka nabo ne basigala nga bayayuuya.

Ate ye omukadde Nanziri apooca n'obulwadde obwamuzimbya ebbeere n'omukono kyokka ng'ate yali azze kujjanjaba nnyina kati ye (Nanziri) yasigaddewo.

 

Enjala nga eruma abaana be Buganda mu lockdown wa Uganda

 

Nnyina Nanfuka ng'ebiyengeyenge bimujjudde amaaso agamba nti abaana be bafa n'asigazaawo babiri okuli Nanziri era eky'okulya bakiweebwa baliraanwa.

Bwe kiri ne ku Namayanja ne Nattabi nabo abaana baabwe bangi bali mu ttaka ne babalekera abazukkulu nga bato ate ng'ebyembi we basula bapangisaawo naye ezisasula tebakyaziraba.

Sheikh Mugera agasse eddoboozi ku ly'abakadde okulaajanira Gavumenti n'abazirakisa okubadduukirirayo eky'okulya n'akasente k'obujanjabi mu kaseera kano ak'omuggalo kuba embeera gye bayitamu ssi nnyangu.